Indirimbo ya 154 mu CATHOLIC LUGANDA
154. GGWE KATONDA W’ENSI JANGU
1. | OTULOKOLE (Fr. James Kabuye) 1. Ggwe Katonda w‟ensi jangu otulokole, Kristu Katonda alijja jangu otulokole. |
2. | 2. Ggwe Katonda w‟ensi tosunguwala, sonyiwa ebibi byaffe, Jjukira ekibuga kyo kisigadde ttayo. |
3. | 3. Laba ekibuga Yeruzalemu bwe kifuuse amatongo kyonna, Sso nno ye nnyumba y‟ekitiibwa kyo mwe baakutendanga. |
4. | 4. Ggwe Katonda w‟ensi eno tusaasire, twonoonye tukirako abagenge, Ffenna anti tugudde ng‟obukoola bw‟oku muti ogukalidde ddala. |
5. | 5. Laba ebibi bwe bitusaasaanya ng‟oyo kibuyaga akunta ennyo. Ggwe nno otukwese amaaso go ago otulekeredde. |
6. | 6. Ggwe eyatutonda, amaaso go gazze ku ffe abanakuwadde bwe tuti Yamba otutumire gw‟ogenda okusindika. |
7. | 7. Omwana w‟Endiga alifuga ensi, musindike ng‟omuggya mu Njazi ez‟eddungu: Omutwoleke Sioni: atuteme mu kikoligo. |
8. | 8. Bantu bange; muweere, muweere obulokofu bwammwe bujja mangu, x2 Mufiira ki ennaku, kuba obulumi bubayinze? Nnaabalokola, muleke kutya mmwe x2 Nze Mukama wammwe, nze Katonda wammwe, Omutukuvu wa Yisraeli, Omununuzi wammwe ntuuse |
By: |