Indirimbo ya 155 mu CATHOLIC LUGANDA
155. JANGU, JANGU GGWE KRISTU
Ekidd: | |
: Jangu, jangu Ggwe Kristu Omulokozi w’abantu, Jangu okutuwonya Jangu, jangu, jangu. | |
1. | 1. Edda lyonna tusuubira, Era nga tulindirira Yamba Ssebo tusaasire Tofa ku bibi byaffe Yima ku bunaku bwaffe, Tuggye mu nvuba zaffe Jangu, jangu, jangu. |
2. | 3. Vva mu ggulu ojje ewaffe Ayi Ggwe Katonda waffe Otuggye mu bibi byaffe Weewaawo tusaanidde Omuliro gw‟emirembe Naye era tuddiremu Jangu, jangu, jangu. |
3. | 4. Tunuulira mu nsi zonna, Ffenna tuli mu maziga, Tukusaba otusaasire, Ggwe ow‟ekisa, Kitaffe, Tukusaba: Ojje mangu Okutubeera Kristu Jangu, jangu, jangu. |
By: W.F. |