Indirimbo ya 157 mu CATHOLIC LUGANDA
157. KATONDA W’AMAWANGA
1. | 1. Katonda w‟amawanga. Leka tusaasire! Otume gwe walanga, Ssebo muyanguye! Tusinda mu luwonvu Olw‟ennaku n‟ekibi Oyambe n‟obugonvu Ffe abaana aboonoonyi. |
2. | 3. Laba emmunyeenye eyaka Egoba enzikiza; Ye Nnyina wa Kabaka Atutangirira, Ggwe essuubi ly‟Abalanzi Wamu n‟ezzadde lyo Otuddize obuganzi Obw‟Omuwere wo! |
By: M.H |