Indirimbo ya 158 mu CATHOLIC LUGANDA
158. MUGAMBE MUWALA WA SION
1. | (Fr. James Kabuye) Ekidd.: Mmwe mugambe muwala wa Sion, Nti Omulokozi we wuuno ajja, Empeera y’obuganzi emuli mu gwa ddyo N’ebitiibwa bye bimukulemberamu, Mukama Mugagga, abamutya baliyitibwa batukuvu banunule Sso ggwe oliyitibwa kibuga ekyayonoonebwa ne kiddawo. Kibuga ky’Omukama ky’atagenda kwerabira. |
2. | 1. Nnantalemwa afuga amawanga ddala kati azze, kati azze Kabaka w‟eggulu. Ensi ye k‟ejaguze ddala kati azze, kati azze Omwana w‟enngoma N‟ebizinga bisanyuke. ddala kati azze, kati azze Kabaka w‟eggulu. |
3. | 2. Mu maaso g‟ensozi empanvu ddala kati azze, kati azze Kabaka w‟eggulu. Zonna ezo ziggweerere ddala kati azze, kati azze Omwana w‟enngoma N‟ensi eno ekankane . ddala kati azze, kati azze Kabaka w‟eggulu. |
4. | 3. Bamumanyi kati banywevu Beesiimye bajaguze Nnamula ye atuukirire. |
5. | 4. Buyinza bw‟Omukama bungi Ku nsi eno bulangibwe Tolina Ggwe kikulema. |
By: |