Indirimbo ya 160 mu CATHOLIC LUGANDA
160. MULONGOOSE MMWE AMAKUBO
1. | (Fr. James Kabuye) Ekidd.: Mulongoose amakubo, mulongoose amakubo g’Omukama Wuuno atuuka Kristu ali kumpi. Mubonerere obwakabaka Bwa Katonda bwe buubwo busembedde, mubonerere, Obwakabaka bwa Katonda, bwe buubwo busembedde. |
2. | 1. Butuuse, obudde butuuse obw‟okulokoka kwammwe. Obudde butuuse, muve mu tulo, mudde eri Omukama, Anti asaasira, anti atwagala: Ye tayagala mwonoonyi n‟omu kuzikirira. Mulongoose, mulongoose amakubo ge. x2 |
3. | 2. Butuuse, obudde butuuse obw‟okulokoka kwammwe Obudde butuuse mwenna mwanguwe, mujje eri Omukama, Anti asaasira, anti atwagala: Ye tayagala mwonoonyi n‟omu kuzikirira. Mulongoose, mulongoose amakubo ge. x2 |
4. | 3. Butuuse, obudde butuuse obw‟okulokoka kwammwe Obudde butuuse, Omuyinza atuuse, leero nga tuwonye, Anti asaasira ………. |
5. | 4. Butuuse, obudde butuuse obw‟okulokoka kwammwe Obudde butuuse muve mu nsobi mmwe, etuuse essaawa, Anti asaasira, anti atwagala ………. |
By: |