Indirimbo ya 161 mu CATHOLIC LUGANDA
161. MUNUNUZI AJJA
Ekidd: | |
: Mununuzi ajja – nkulinda butakoma Mununuzi ajja – nkulinda butakoma Mukama wange – nkulinda (n’obwesige) Mununuzi ajja – nkulinda butakoma Mutonzi w’ensi Katonda ajja, mpuliriza jangu, mpuliriza jangu. | |
1. | 1. Omwana w‟omuntu mulimulaba ng‟ajja mu bire N‟ekitiibwa kingi era n‟amaanyi ge mwenna mulimulaba. Kristu Kiwamirembe jangu tukwagala, Kristu Kiwamirembe jangu Kristu Kiwamirembe jangu tukwagala, Kristu Kiwamirembe jangu Tukumanye. |
2. | 2. Omwana w‟omuntu mulimulaba ng‟ajja mu bire n‟ekitiibwa kingi Ng‟azze aliramula byonna mulibiraba. Kristu Kiwamirembe jangu tukwagala, Kristu Kiwamirembe jangu Kristu Kiwamirembe jangu tununulwe. |
3. | 3. Omwana w‟omuntu talitujuza, abamuweereza N‟ebirungi bingi ng‟azze aligabula ffenna n‟atumatiza. Kristu Kiwamirembe jangu tukwagala, Kristu Kiwamirembe jangu. Kristu Kiwamirembe jangu otujune. |
4. | 4. Omwana w‟omuntu tuli mu ssanyu ffe abamumanyi, Twesiga Ggwe Yezu ffenna tukakasa ng‟ozze tulikulaba. Kristu Kiwamirembe jangu tukwagala, Kristu Kiwamirembe jangu. Kristu Kiwamirembe jangu Ggwe olamule. |
5. | 5. Ffe abaana b‟abantu tuli mu kkubo eritunyiga, Twesiga Ggwe Yezu ffenna, tukakasa gy’oli nantagobebwa. Kristu Kiwamirembe jangu tukwagala, Kristu Kiwamirembe jangu. Kristu Kiwamirembe jangu tulamulwe. |
By: Fr. James Kabuye |