Indirimbo ya 163 mu CATHOLIC LUGANDA
163. YANGUWA YEZU TUSAANAWO
1. | (Jjuuko Ben.) Ekidd.: Ayi Yezu Ggwe Omusumba Endiga zo ffe twabuliddwa Laba bwe tubunye emiwabo ggwe Omusumba Tukweyuna ffe otujune, Yanguwa Yezu yanguwa, tusaanawo ffe tusaanawo. x2 |
2. | 1. Tubonaabona ffe tulumwa nnyo, Tunadda wa Kitaffe otuddiremu, Gutusinze ffe twenenyezza, Twenenyezza – twenenyezza – twenenyezza. |
3. | 2. Eggwanga lyo Kitaffe eribonaabona, Kye tusaba Kitaffe oliddiremu, Okwegayirira okwo kukutuukeko, Katonda ow‟obuyinza omusaasizi Otuddiremu – otuddiremu – otuddiremu. |
4. | 3. Omusumba omulungi onojja ddi, Abaana bo sitaani anatumalawo, Ddunda ow‟obuyinza omuzirakisa Omuzigu sitaani ataamye nnyo, Anaatumalawo – anaatumalawo – anaatumalawo. |
5. | 4. Entalo za sitaani omuzigu oli Ddunda ow‟obuyinza ozimalewo Enduulu n‟okukaaba ebizivaamu, Obimalewo Kitaffe Omusaasizi Eddembe liddewo – eddembe liddewo – eddembe liddewo. |
By: |