Indirimbo ya 164 mu CATHOLIC LUGANDA
164. YEZU WAFFE OMUNUNUZI
1. | 1. Yezu waffe omununuzi 4. Erinnya lyo erya Yezu Omutonzi w‟ebiriwo Lya kitiibwa mu nsi yonna Abakukkiriza mu nsi N‟emagombe ne mu ggulu Bonna beesiga ekisa kyo. Wonna lifukaamirirwa. |
2. | 2. Wajjirira kimu kyokka 5. Ayi Yezu nannyini kisa, Kwe kutulokola ffenna, Omulamuzi w‟abantu Mu buddu mwe twakulira Tukwegayiridde ffenna Ne leero totwabulira. Yamba: Tugende mu ggulu. |
3. | 3. Ekyokwenunula ffekka 6. Katonda Mukama waffe, Ffenna wamu kyatulema: Trinita Omutuukirivu, Ggwe wakisobola wekka Tukusinza ffenna wamu Nga weefudde ng‟ekyonziira. Emirembe n‟emirembe. |
By: W.F. |