Indirimbo ya 168 mu CATHOLIC LUGANDA
168. AZZE OMUNUNUZI
Ekidd: | |
: Azze omununuzi atuuse, Azze Omulokozi owaffe Azze! Azze! Omulokozi Kristu omusuubize atuuse Azze atumulise n’amazima. Azze atumulise n’okumanya Azze tugabane ku Bwakatonda obw’oyo Agabanye ku bwomuntu. | |
1. | 1. Kristu leero omulimo gwe yakola ng‟afuuka omuntu Atuzze buto kati gulabise, Ffe ababadde ab‟okufa tuzze buto tuli balamu mu ye. |
2. | 2. Kristu leero omulimo gwe yakola ng‟afuuka omuntu Atuzze buto kati gulabise, Ffe ababadde abagobeddwa tuyitiddwa tuli balamu mu ye. |
3. | 3. Kristu leero omulimo gwe yakola ng‟afuuka omuntu Atuzze buto kati gulabise, Ffe ababadde abatawaana tuwonyezeddwa, tunyiridde mu ye. |
4. | 4. Kristu leero omulimo gwe yakola ng‟afuuka omuntu Atuzze buto kati gulabise, Ffe ababadde aba wansi, tusituddwa, tuli ba Mukama oyo. |
By: Fr. Expedito Magembe |