Indirimbo ya 169 mu CATHOLIC LUGANDA
169. AZZE OMUSUUBIZE
Ekidd: | |
:Soprano / Alto: Azze, Azze, Azze Omusuubize Bass / Tenor: Azze Azze Atuuse Omusuubize, Omusuubize Soprano / Alto: Ye – oyo Bajjajjaffe bali ab’edda gwe baalanga Bass / Tenor: Bajjajjaffe bali ab’edda gwe baalanga. Soprano: Atuuse wamma bali ab‟edda gwe baalanga B / T /A. Alleluiah, Alleluiah, Alleluiah, Alleluiah, Alleluiah Atuuse amazima ye Mulokozi atuzaaliddwa B / T /A. Alleluiah, Alleluiah, Alleluiah, Alleluiah, Alleluiah. | |
1. | 2. Azze eno Katonda wuuno Yezu azze ku nsi, Ye wuuyo atuuse ye musuubize atwewadde. |
2. | 3. Obwavu obuzibu obwo nno Mukama bwe yeeroboza, Mu ky‟ente ekisibo mu Mmanvu mw‟azazikiddwa. |
3. | 4. Abasajja Abasumba azze Malayika ababuulidde, Nti temutya mbagumya Omulokozi abazaaliddwa. |
4. | 5. Omukama Katonda wuuno naffe ye EMMANUEL, Ye Kabaka alamula ye MESSIYA ate ke KALIGA. |
5. | 6. Ffenna kati abantu, Kristu Mukama atwagadde, Mu nnyimba ezinyuma tumuyimbire anti tununuddwa. |
By: Ponsiano Ssali |