Indirimbo ya 170 mu CATHOLIC LUGANDA
170. AZZE OMWAGALWA WAFFE
1. | (Fr. Joseph Namukangula) Ekidd.: Azze Azze omwagalwa waffe Omununuzi tuli naye Ye Mwana wa Taata Ssabalangira atuuse Omwana omwagalwa ow’eddembe Ffe ka tumuwe ettendo mu ggulu ne mu nsi Atuuse omwagalwa ow’eddembe. |
2. | 1. Azze omnunuzi ava wa Kitaffe (Katonda) Azze okujuna aggye mu kisa kye (Azze) Ndabira wa Omutonzi wange. |
3. | 2. Bonna Abalanzi baamulanga (Katonda) Nti oyo alizaalibwa e Betelemu (Azze) Y‟alirokola amawanga gonna. |
4. | 3. Yozefu Omwagazi omukuumi w‟oyo (Katonda) Maria embeerera muzadde w‟oyo (Azze) Bannamukisa teri abasinga. |
5. | 4. Omwana atwagala azze lwa kuba ffe (Katonda) Azze atubeeremu Omusumba owaffe (Azze) Ye mulambisi atulambika eka. |
6. | 5. Enzikiza n‟ennaku bigende Anaabimalawo atuuse ye Mulangira ow‟Eddembe Emmunyeenye y‟amawanga gonna Azze wuuno Omulangira ow‟Eddembe. (Azze ow‟ekitiibwa) |
7. | 6. Obukyayi n‟entalo bigende Anaabimalawo atuuse, ye Mulangira ow‟Eddembe Ye mukwano gw‟abatonde bonna Azze wuuno Omulangira ow‟eddembe. (Azze ow‟ekitiibwa) |
8. | 7. Amasabo n‟ensawo mubyokye Nnyini-bulamu atuuse ye Mulangira ow‟Eddembe Ye Katonda eyatonda ffenna Azze wuuno Omutonzi w‟eggulu n‟ensi. |
By: |