Indirimbo ya 171 mu CATHOLIC LUGANDA
171. BETELEMU
1. | Betelemu, Betelemu! Ggwe nnamukisa Betelemu, Betelemu! Ggwe nnamukisa. |
2. | 1. Yezu azaaliddwa……Betelemu etc…. Yezu azaaliddwa oyo |
3. | 2. Ssabalangira…. Kristu azaaliddwa ggwe |
4. | 3. Ssabazaawuzi… Ozze okuzaawula ffe Ssanyu lisusse, ssanyu lisusse, Omununuzi atuuse. x2 |
5. | I II (a) Bannange Abasumba mujje Tugende Anti mbayita obw‟edda Tugende Tugende e Betelemu Tugende e Betelemu Tulabe Omwana oyo azaaliddwa. |
6. | (b) Azaaliddwa! Kigambo kya ssanyu. Tugende Ffenna, Alleluia mu nsi Ne mu Ggulu nga ky‟ekyo. |
7. | (c) Ye wuuyo Katonda y‟azze Afuge ensi alamule ebyeggulu Ye wuuyo Omusumba waffe. |
8. | (d) Ye wuuyo eyalangwa y‟azze Kabaka ono omufuzi ow‟ekisa Ye wuuyo Omusuubize azze. |
9. | (e) Yeebase awo mu Kabanvu Bambi empewo emufuuwa Anti awo awasula ente. |
10. | (f) Maria ne Yozefu abange Mbalaba mufa ekitiibwa Wuuno kabiite wammwe. |
11. | (g) Mmwe abaagalwa, muyimbe Anti essanyu lisusse! Ye ono Omununuzi azze. |
By: Fr. Joseph Namukangula |