Indirimbo ya 173 mu CATHOLIC LUGANDA

173. E BETELEMU ABASUMBA


1.1. E Betelemu Abasumba
Tibeebaka na ku tulo
Baalunda endiga ku ntunnumba
Gye baayotera omuliro
Amangu ago ne wajjawo
Malayika w‟omu ggulu
Ayaka ng‟ayimiridde awo
N‟abajjuza entiisa enzibu.
2.2. Ko ye nti “Mwenna mutereere
Essanyu libunye mu nsi
Katonda, nga Mwana omuwere,
Asuze mu mpuku muli”
Banne bangi nnyo ne bakwanya
Ennyimba ez‟okwaniriza
Katonda gwe yabalagaanya
Asaana okusanyukirwa.
By: M.H.



Uri kuririmba: Indirimbo ya 173 mu Catholic luganda