Indirimbo ya 176 mu CATHOLIC LUGANDA
176. KIGAMBO EYALIWO OBW’EDDA
1. | (Fr. James Kabuye) Ekidd.: Kigambo eyaliwo obw’edda, Omwana wa Katonda gw’azaala, Yeefudde omuntu nga ffe n’azaalwa (D.C) Ku nsi eno n’abeera ewaffe. |
2. | 1. Tumwebaze nnyo oyo Kitaffe, atuwadde bw‟atyo Omwana we leero. Byonna abituwadde mu Mwana we, ffenna atununudde Ng‟asindika Kristu Omununuzi. |
3. | 2. Tumwebaze nnyo oyo Kitaffe, Y‟amutumye Yezu ajje awonye bonna. Ffenna atununudde mu Mwana we, leero tekitendwa Avuddeyo Kristu Omununuzi. |
4. | 3. Tumwebaze nnyo oyo Kitaffe, Y‟amuleese Yezu ajje amale byonna, Byonna abimuwadde mu Mwana we, byonna abimuwadde Alamule Kristu eggulu n‟ensi. |
5. | 4. Tumwebaze nnyo oyo Kitaffe, ayogedde naffe mu Mwana we leero, Mujje abantu mwenna abaagala, Mujje abantu mwenna Ayagala Kristu ababeeremu. |
6. | 5. Tumwebaze nnyo oyo Kitaffe, atusenze bw‟atyo mu Mwana we leero. Ku nsi teri muntu atamanyi, ku nsi teri muntu Atamanyi Ddunda anti Mununuzi. |
By: |