Indirimbo ya 177 mu CATHOLIC LUGANDA
177. KRISTU ATUUSE
1. | 1. Kristu atuuse – Tusanyuke Alleluia ,Alleluia Omulokozi azze. Kristu ssuubi lyaffe Kristu obulamu bwaffe Kristu Omulokozi azze Kristu Katonda waffe. |
2. | 2. Abamwegaana – Abamwegaana mukyuse emitima gyammwe Ababadde bawabye – Ababadde bawabye mukyuse amakubo mudde Abamunoonya – Abamunoonya musanyuke Kristu azze Abamusenga – Abamusenga musanyuke Kristu azze. |
3. | 3. Endagaano y‟obulamu ey‟emirembe n‟omukwano ne Katonda y‟eno Y‟eno Amazaalibwa ga Kristu Omununuzi Omukisa guli ogw‟edda ennyo gwe baatugamba ogw‟obununuzi gwe gwo. Gwe gwo Amazaalibwa ga Kristu Omununuzi. Okusuubiza kuli okw‟edda okwa Bajjajja n‟Abalanzi kwe kwo; Kwe kwo Amazaalibwa ga Kristu Omununuzi. Eggulu n‟ensi byayawukana, ku luno byegatta olwa Katonda ono azze, Ono azze Amazaalibwa ga Kristu Omununuzi. |
4. | 4. Kristu nkwagala Kabaka wange Kristu nkwagala essuubi lyange Kristu nkwagala Mulokozi wange nkwagala. |
By: Fr. Expedito Magembe |