Indirimbo ya 179 mu CATHOLIC LUGANDA
179. MBUUZA ABATAKA
1. | (Joseph Kyagambiddwa) 1. Mbuuza abataka b‟e Buyudaaya Ne mbayita basseruganda, mumpulire:- Yee! Kristu alizaalibwa wa? Betelemu gye yalangwa Omulangira Yezu gy‟alizaalibwa. |
2. | 2. Nzize ngubagguba, nkulemberwa mmunyeenye Nga emmulisiza ekkubo, Yee! Ng‟eboneka lw‟oyo: Omuwere Omwana. Betelemu gye yalangwa Omulangira Yezu gy‟alizaalibwa. |
3. | 3. Anti amazima obutalimba, lwa ssanyu Waggulu kitiibwa nnyo! Alleluia leero Yee! N‟emirembe ku nsi. Betelemu gye yalangwa Omulangira Yezu gy‟alizaalibwa. |
4. | 4. Azze Omununuzi, muwulire ensinda anti Ennyonyi empuuna-malungu eragula ewuuna:Yee! Anti Omulokozi azze. Betelemu gye yalangwa Omulangira Yezu gy‟alizaalibwa. |
5. | 5. Maria nkulamusa, Nnakawere Maama Kulika kuzaala, Taata Yozefu mwembiYee! Mundage ku Mwana. Betelemu gye yalangwa Omulangira Yezu gy‟alizaalibwa. |
6. | 6. Ddala eno Nowere, mulembe muggya guno Bampe omuliro ebikadde mbyokye kati byonna Yee! Alleluia ffenna. Betelemu gye yalangwa Omulangira Yezu gy‟alizaalibwa. Eh……..M Eh! M! Eh! M Eh……M: Yee! Betelemu gye yalangwa Omulangira Yezu gy‟alizaalibwa. |
By: |