Indirimbo ya 180 mu CATHOLIC LUGANDA
180. MUJJE MMWE TWEJAGE
1. | 1. Mujje mmwe twejage, lwa ssanyu lwa ttendo Tulamuse Yezu ono ali mu mmanvu omwo. Njuba eyaka wuuno, anti lw‟azze atwakidde Tuva gy‟ali eyo: Tudda gy‟ali eyo. x2 |
2. | 2. Ayi Yezu omuto, ozze ewaffe abaavu Ofuuse mwavu olwa ffe, ozaaliddwa okwa ffe, Yezu Katonda otuuse, Ggwe ozze otulokole. Ye Ggwe Emmanuel, tuula Ggwe mu ffe. x2 |
3. | 3. Kitaffe saasira, kuba Yezu atuuse Tubadde n‟ennaku anti olw‟ebibi eby‟edda Yezu Messiya atuuse ku nsi atulokole Tukyaye byonna, saasira Ddunda. x2 |
4. | 4. Essanyu lijjula bonna ababa w‟oli Bonna abali eyo naawe bayimba nnyo nnyini Ggwe Yezu mpa okubeera mu kwesiima ffembi Kristu ndokola, yamba nze omwavu. x2 |
By: M.H. |