Indirimbo ya 181 mu CATHOLIC LUGANDA
181. MU KYALO KYE BETELEMU
1. | 1. Mu kyalo eky‟e Betelemu, Mu ttumbi waaliwo entiisa, Bonna abaali awo nga bakuuma Ezaabwe endiga enkumu Okutemya ng‟atuuse wuuno Malayika azze ng‟eraddu, Amyansa ng‟ayimiridde awo, Ku olwo baatya ekintu ekiggya. |
2. | 2. Mwenna essanyu, bw‟atyo bw‟agamba Malayika ajjudde essanyu Mu mpuku Yezu gy‟ali, Mwana Messiya eyalangwa abedda Banne bangi ku olwo beegatta Nga bayimba ennyimba empoomu Azze Omulagaanye wa bonna Ssanyu lingi, Alleluia. |
By: M.H. |