Indirimbo ya 182 mu CATHOLIC LUGANDA

182. MULOKOZI AZAALIDDWA


1.1. Mulokozi azaaliddwa Alleluia
Leero mpaawo atasanyuka. Alleluia Alleluia
Ekidd.: Ffenna tusanyuke
Yezu waffe tumusinze
Nga tumuyimbira.
2.2. Omwana wa Nnyiniggulu Alleluia
Ye wuuyo eyeefudde omuntu. Alleluia Alleluia
3.3. Yesammula olubiri lwe ,,
N‟asiima ekisibo ky‟ente. ,, ,,
4.4. Yatwenkana mu mubiri ,,
Kyokka nga talina kibi. ,, ,,
5.5. Malayika ow‟omu ggulu ,,
Mu nsi yaleetamu essanyu. ,, ,,
6.6. Basumba be baabuulirwa ,,
Ng‟Omwana oyo ye Mukama. ,, ,,
7.7. Ne wajjawo Bakabaka ,,
Nga bavudde e Buvanjuba. ,, ,,
8.8. Ekyabaleeta mmunyeenye ,,
Gye baalaba mu nsi yaabwe. ,, ,,
9.9. Yabakulembera ekkubo ,,
N‟ebatuusa mu kisibo. ,, ,,
10.10. Omwana baamutonera ,,
Zaabu, Bubaani ne Mirra. ,, ,,
11.11. Obudde butuuse ekiro ,,
Bonna nga beebase otulo. ,, ,,
12.12. Malayika n‟alabika ,,
N‟abulira Bakabaka. ,, ,,
13.13. Timudda Yeruzalemu ,,
Kubanga Erode mutemu. ,, ,,
14.14. Muwulire ky‟ateesezza ,,
Omwana okumutemula. ,, ,,
15.15. Awo nno bwe munaddayo ,,
Ewuwe timuyitayo. ,, ,,
16.16. Bwe baatuusa okutambula Alleluia
Ne bakwata ekkubo eddala. Alleluia Alleluia
17.17. Erode bw‟atyo n‟asubwa ,,
Omwana Yezu n‟awona. ,, ,,
18.18. Yezu Kristu tumwebaze ,,
Emirembe n‟emirembe. ,, ,,
By: W.F.



Uri kuririmba: Indirimbo ya 182 mu Catholic luganda