Indirimbo ya 183 mu CATHOLIC LUGANDA

183. MULOKOZI AZAALIDDWA


Ekidd:
: Mulokozi azaaliddwa,
Tujaganye tujjule essanyu,
Mulokozi azaaliddwa,
Leero tujaguze ffenna.
1.1. Atuuse gwe twalindanga
Ennaku leero ziwedde,
Atuuse gwe twalindanga!
N‟Abalanzi gwe baalanga.
2.2. Atuuse omwagalwa waffe
Omulokozi w‟abantu:
Atuuse omwagalwa waffe,
Ye wuuyo wano mu mmanvu.
3.5. Mwanguweko Bakabaka:
Mugoberere emmunyeenye:
Mwanguweko Bakabaka:
Musinze Mukama wammwe
By: W.F.



Uri kuririmba: Indirimbo ya 183 mu Catholic luganda