Indirimbo ya 185 mu CATHOLIC LUGANDA
185. NOEL NOEL NOEL
Ekidd: | |
: Noel, Noel, Noel, Noel azaaliddwa Emmanuel Noel Noel azaaliddwa Emmanuel wuuno atuuse Azaaliddwa ye Kabaka ye Kabaka W’ebitonde by’ensi eno. Ye Messia Omusuubize Ddunda ow’eddembe. T/B.: Noel, Noel, Noel, Emmanuel Noel Noel azze Emmanuel wuuno atuuse Ye Kabaka w’ebitonde by’ensi eno. Messia azze Ddunda ow’eddembe. | |
1. | 1. Ye Messia Omusuubize, Abalanzi gwe baalanga, Ye Muwere atuweerezeddwa, yeefudde omuntu nga ffe, Ye Mulokozi, ye Mulindibwa, ye Muyinza Nnantalemwa. |
2. | 2. Ye Kabaka omulindibwa, Abalanzi gwe baalanga. Ye Muwere alina engabo, ku bibegabega bye, ye Mulokozi Ye Mulindibwa, ka tumusinze ffenna. |
3. | 3. Azze Yezu mu kumyamyansa, Kigambo oyo gwe tulaba, Olunaku lw‟atutuuseeko, lwa kitiibwa lwa ttendo, Bamalayika batubuulira nti Omulokozi atuuse. |
4. | 4. Olunaku lutukeeredde, mwenna abantu leero mujje, Basumba abo tubasimbeko, Kristu oyo tumunoonye, Tumwanirize, tumukulise, Omulindwa tumusinze. |
5. | 5. Ali naffe mu kutambira, ali naffe mu Wostia, Atuyita tubeere wamu, ffe baana Ye b‟alyoye, tumuwulire, Atutwalenga, tutuuke naffe mu ggulu. |
By: Fr. James Kabuye |