Indirimbo ya 186 mu CATHOLIC LUGANDA

186. OMUNUNUZI AZZE


Ekidd:
: Omununuzi azze, Omulokozi atuuse
Ffenna abantu tusanyuke, tujaguze nnyo!
Yee! Yee! Omununuzi atuuse. Nga kya ssanyu leero.
Yezu azaaliddwa! x2
Tutti:
1.1. (a) Omutonzi lw‟ozze ewaffe tukwanirizza
Ffenna tukukkiriza Yezu,
Ng‟oli wa kisa Ggwe wenna Katonda Mwana
Saasira, tube mu ddembe.
(b) Emirembe gy‟ekko egy‟edda giweddewo
Lwaleero tusanyuke nnyo Yezu,
Ng‟oli mwagazi kuggwaayo Katonda Mwana
Saasira, tube mu ddembe.
2.2. (a) Okulinda kw‟emyaka kwe tuluddemu
Kati kukomye; w‟atuuse Yezu,
Ng‟oli wa kitiibwa Ggwe ow‟obuyinza
Saasira, tube mu ddembe.
(b) Mu ggulu ekitiibwa ggwe okivuddemu
Obeere wano osule ng‟omwavu
Twebaze okutwewa wenna ow‟obuyinza
Saasira, tube mu ddembe.
3.3. (a) Omulangira Yezu Ggwe Nnyina amuzaala
Yogaayoga ddala nnyo Maama!
Twagala otutuuse ffenna ku w‟obuyinza
Biikira tuweese ekitiibwa.
(b) Ffe tuyimbira Taata oyo atuzaalira
Omutabani omuganzi Yezu
Twatula awamu ne Mwoyo Katonda mwene
Saasira, tube mu ddembe!
By: Joseph Kyagambiddwa



Uri kuririmba: Indirimbo ya 186 mu Catholic luganda