Indirimbo ya 187 mu CATHOLIC LUGANDA

187. OMUNUNUZI KRISTU


1.AZAALIDDWA (Fr. Expedito Magembe)
Omununuzi Kristu azaaliddwa, azaaliddwa Kristu wuuno azze
Alleluia Alleluia Alleluia Kristu wuuno azze.
Kristu… azze… azze…azze….Kristu azaaliddwa….. Kristu wuuno azze.
Y‟anaatumulisa ….. y‟anaatumulisa mu mutima amazima
Y‟anaatumulisa …. ne tusobola okulaba bw‟afaanana
Y‟anaatuwabula ….y‟anaatuwabula Ye ye muwabuzi
Y‟anaatuwabula ….Y‟anaatuwabula ababi ffe abaali bawabye.
Azaaliddwa Mulindwa atuuse ye w‟okutuwonya azze Omununuzi.
Azaaliddwa Omusuubize atuuse gwe baatusuubiza azze Omununuzi.
Azaaliddwa Mulindwa wuuno ye w‟okutuwonya azze Omununuzi.
A…lleluia Alleluia Alleluia azaaliddwa Omulokozi azaaliddwa.
Azze Omusuubize tumwanirizza, azze Omusuubize tumukkirizza,
Kristu tumukkirizza, Kristu Omulokozi azze:
A…lleluia Alleluia Alleluia azaaliddwa Omulokozi azaaliddwa.
Y‟oyo azze okujuna ……abamusaba okulaba bonna
Y‟oyo azze okujuna ……atuuse anaatujuna
Y‟oyo azze okujuna ……abamusaba okuwona bonna
Y‟oyo azze okujuna ……ye wuuyo Nnantalemwa.
A…lleluia Alleluia Alleluia azaaliddwa Omulokozi azaaliddwa.
By:



Uri kuririmba: Indirimbo ya 187 mu Catholic luganda