Indirimbo ya 188 mu CATHOLIC LUGANDA
188. OMWANA W’OMUTONZI
1. | 1. Omwana w‟Omutonzi, alese eggulu lye; Mulabe Omulokozi, azaaliddwa ku nsi. Ffe abali mu nnaku, Yezu atusaasidde; Azze okutuggya mu buddu, n‟effugabbi lya sitaani. Amutuwangulidde, amutuwangulidde. |
2. | 2. Abantu, mutegeere Yezu bw‟atwagala Ffenna ka tumweyanze okutulokola Ebyonziira eby‟edda leero tibikyagasa: Tufunye ekirala ekiggya, Yezu yekka atasingika; Ye wuuyo atununula, Ye wuuyo atununula. |
3. | 3. Ekitwesiimya ku nsi leero, nze nkigaya; Anti ndaba Omutonzi bwe yeefudde Omwana. Ggwe wamma kya ssanyu! Abantu tuweereddwa! Yezu bw‟avudde mu ggulu, atuwonyezza obunaku. Tumusseemu ekitiibwa, Tumusseemu ekitiibwa. |
4. | 4. Twala nno omwoyo gwange, Yezu Ggwe Kabaka, Ne mu bulamu bwange onfugire ddala. Nkulagaanya kino: Okubeera omuddu wo N‟okukwagalira ddala mu mazima nga sirimba; Ggwe Omulokozi wange, Ggwe Omulokozi wange. |
By: W.F. |