Indirimbo ya 190 mu CATHOLIC LUGANDA
190. TULABA KU KI AZZE
Ekidd: | |
.: Tulaba ku ki azze Ssabalangira, Ku nsi Ssabalangira azze Kuno ku nsi Ssabalangira azze Kuno ku nsi tumulamusa azze Ssabalangira. | |
1. | 1. Akul: Atuuse Omusuubize azze………….(Ekidd.) Ggwe jaganya omuwala wa Sion……. Kabaka Omusuubize azze,…… Ye wuuyo Omufugisa ddembe…… Ye wuuyo Omutonzi w‟ensi…… Weyanze Omununuzi azze……. |
2. | 2. Atuuse talwa atuuse…. Ssabalangira Atuuse gwe banngamba…. ,, Ewaffe talwa atuuse…. ,, Atuuse gwe twegomba….. ,, Leero nze nsaba, nsinza…. ,, Atuuse gwe twegomba…. ,, Mu mmanvu ndabye akaaba…. ,, Asiimye okuba omwavu…. ,, Atuuse tagwa ssaawa… ,, Ye wuuyo e Betelemu…. ,, |
3. | 3. Akul: Atuuse Kiwamirembe ……..(Ekidd.) Aliwa emirembe ensi eno n‟etereera ng‟efunye Emirembe anti atabaganya azze Ssabalangira Mufugisa ddembe ,, Kabaka ow‟eddembe ,, Ku olwo empologoma ewuuna erizannya n‟akaliga awatali kabenje …… Akul: Ensi eno nayo erifuuka nnyo….. (Ekidd.) Abakungu n‟abakopi ku olwo baliteesa…… Obutuufu n‟obwenkanya bulisisinkana…. Alifuga amawanga gonna…. Omukama alituula ku ntebe ye Ng‟atuuse aligabula abantu Ensi eno nayo eribiibyako Ng‟atuuse Kiwamirembe ajja…. |
4. | 4. Akul: Mu mirembe gya Messiya teriba kulwana……. Teri nnyombo, teri nnyombo tewali kuyomba, Kristu atabaganya azze Omulangira ow‟eddembe x2 Akul: Azze……………(Ekidd.) Ssabalangira Azze…………………Omulangira ow‟eddembe. Akul: Mu mirembe gya Messiya teriba njala egwa…. Mu mirembe gya Messiya tulirya ne twekkya……. Mu mirembe gya Messiya n‟emiti giryanya….. Mu mirembe gya Messiya tulinywa ku byaleeta. Mu mirembe gya Messiya tuliba mirembe. |
By: Fr. James Kabuye |