Indirimbo ya 191 mu CATHOLIC LUGANDA
191. TULI MU SSANYU
1. | 1. Tuli mu ssanyu, tuli mu ssanyu atuuse olwaleero Olwaleero Omununuzi lw‟azze tuli mu ssanyu Azaaliddwa. D.C. Omulokozi atuuse Omwana wa Katonda Ye Messiya, Ye Messiya Omununuzi atuuse kyewuunyo Ye Messiya, Ye Messiya. x2 b) // Atwagala Omununuzi Atwagala Kristu nkwewuunya Ggwe atwewadde Omununuzi x2 Ha…. Omununuzi Ha…. Omununuzi. // Leero Omwana azaalidwa ku lwaffe Lw‟atuuse Kristu nneeyanza lwa ttendo azaaliddwa. Leero atuuse, leero atuuse, twesiimye Omwana anti azaaliddwa. |
2. | 2. Tuli mu ssanyu… b) Omwana wo Omununuzi Omwana wo Patri ataggwaawo y‟atwewadde Omununuzi x2 Ha…. Omununuzi Ha.. Omununuzi |
3. | 3. Tuli bantu bo, tuli bo Yezu olwaleero Olwaleero Omununuzi wamma tuli bantu bo Olwaleero x2 Omulokozi atuuse Omwana wa Katonda Ye Messiya, Ye Messiya. Omununuzi atuuse kyewuunyo Ye Messiya, Ye Messiya. //Ffe abaana bo Omununuzi Ffe abaana bo Patri tweyanza otuwadde nnyo Omununuzi x2 Ha… Omununuzi Ha….. Omununuzi . //Leero Omwana azaalidwa ku lwaffe. Lw‟atuuse Kristu nneeyanza lwa ttendo azaaliddwa. x2 Leero atuuse, leero atuuse twesiimye Omwana anti azaaliddwa. |
By: Fr. James Kabuye |