Indirimbo ya 193 mu CATHOLIC LUGANDA
193. WUUNO LABA ATUUSE
Ekidd: | |
: Wuuno laba atuuse, Yezu azaaliddwa. Wuuno laba atuuse, leero atuzaaliddwa! Noel! Noel! Noel! Yezu azaaliddwa. x2 | |
1. | 1. Ensi yalindanga Omulokozi okujja Twali tuwabye ffenna, Omulokozi okujja Ye wuuyo Omwana wa Katonda Omu gw‟azaala Yeefudde Omuntu atulokole. Mujje tumusinze! Mujje tumusinze. |
2. | 2. Ensi yali eri etya, Omulokozi okujja Yali mu kusinza nte, Omulokozi okujja Ye wuuyo Omwana wa Katonda Omu gw‟azaala Yeefudde Omuntu atulokole. Mujje tumusinze! Mujje tumusinze. |
3. | 3. Ensi yayuuguuma Omulokozi lw‟ajja Emmunyeenye y‟Oli azze, Bamalayika abazibu Be baabo Omwana wa Katonda Omu b‟aleese “Beesiimye abantu abalunngamu! Mujje tumusinze! Mujje tumusinze. |
4. | 4. Mu ssanyu ery‟ensusso, ka tumwebaze lw‟azze Tulina kimu kyokka, okumwagala omuzira Ye wuuyo Omwana wa Katonda Omu gw‟azaala Yeefudde Omuntu atulokole! Mujje tumusinze! Mujje tumusinze. |
By: Fr. James Kabuye |