Indirimbo ya 197 mu CATHOLIC LUGANDA
197. KATONDA WANGE LWAKI
1. | OKUNJABULIRA? (Fr. James Kabuye) Ekidd.: Katonda wange, Katonda wange, lwaki okunjabulira? Nsuubira mu Ggwe Katonda wange, nziruukirira! |
2. | 1. Nkwagala, ayi Mukama, amaanyi gange Olwazi lwange, ekigo kyange, Omulokozi wange; Katonda wange, ejjinja lyange mwe nneekweka, Engabo yange omufunngamye obulokofu bwange Obuddukiro bwange. |
3. | 2. Kubanga yannywererako ndimuwonya, Ndimutaasa kubanga yategeera erinnya lyange; Alinkoowoola nange ne mmuwuliranga, Ndimuwonya ne mmusukkulumya. |
4. | 3. Ndimuwangaaza nnyo n‟asiima; Aliraba nga bwe ndi Omulokozi; Anti Omukama kye kiddukiro kyo, Ali waggulu ddala gwe wafuula ekigo kyo. |
5. | 4. Akabi tikalikusemberera, N‟akabenje tikalisemberera weema yo ggwe; Kuba yalagira Bamalayika be, bakukuume Wonna wonna w‟oyita! |
By: |