Indirimbo ya 198 mu CATHOLIC LUGANDA
198. LWAKI, LWAKI OSUNGUWALIDDE
1. | EGGWANGA LYO? (Fr. James Kabuye) Ekidd.: Lwaki, lwaki osunguwalidde eggwanga lyo? Lwaki, lwaki osunguwalidde eggwanga lyo? Nyiigulukuka ayi Mukama, Saasira eggwanga lyo lino! |
2. | 1. Nsaasira ayi Katonda, ng‟ekisa kyo bwe kiri, Olw‟okusaasira kwo okungi sangulawo ekyonoono kyange. |
3. | 2. Nnyima mu kiwonvu ne nkuwanjagira ayi Mukama, Ayi Mukama, wulira eddoboozi lyange. |
4. | 3. Ggwe asula mu kifo ky‟oyo ali waggulu ddala, Ggwe abeera mu kisiikirize ky‟Omuyinza owa byonna. |
5. | 4. Mpulira ng‟ogerera ku kisa kyo ekingi, Ku kuyamba kwo okutasuulirira. |
6. | 5. Naye nze ndi munaku munakuwavu, Obuyinza bwo buntaase ayi Katonda. |
7. | 6. Nditenda erinnya lya Katonda mu luyimba, Ndimugulumiza mu kwebaza. |
By: |