Indirimbo ya 199 mu CATHOLIC LUGANDA

199. MBONAABONA


1.Bass: Mbonaabona, Mbonaabona, Mbonaabona, Mbonaabona.
Ayi akomereddwa Mbonaabona
Yezu ow‟omukwano Mbonaabona
Bambi ozirika ofa Mbonaabona
Ki obonaabona otyo Mbonaabona
Ng‟ennaku ekuyinze Mbonaabona
Nze nno nnaakola ntya Mbonaabona
Baaba ofiirira nze Mbonaabona
Nange nzirika nfa Mbonaabona
Nzuuno nkaabira Ggwe Mbonaabona
Yezu gwe nnaganza Mbonaabona.
Ssabanunuzi Mbonaabona
Endwadde olwadde ki? Mbonaabona
Ssabanunuzi Mbonaabona
Ofudde okwagala Mbonaabona
Ensi n‟eggulu Mumpe ekyokunywa
Binakuwaza Mumpe ekyokunywa
Anti n‟enjuba efuuse teyaka ezaamye… Mbonaabona
Yezu nkwagala Mbonaabona
Ofudde n‟ondeka Mbonaabona
Yezu nkwagala Mbonaabona
Ntwala eyo gy‟olaga Mbonaabona
Singa abambowa Mumpe ekyokunywa
Nze nno akussisa Mumpe ekyokunywa
Nange banzite nfe tufe wamu naawe …. Mbonaabona
Yezu omwagazi Mbonaabona
Ofudde n‟ondeka Mbonaabona
Ntwala eyo gy‟olaga Mbonaabona
Mwenna mweraba Mumpe ekyokunywa
Wuuno asiibula Mumpe ekyokunywa
Ye atwagala afudde olw‟okubeera ffe… Mbonaabona
Yezu nkwagala Mbonaabona
Ofudde n‟ondeka Mbonaabona
Yezu nkwagala Mbonaabona
Ntwala eyo gy‟olaga Mbonaabona
Ggwe Nnyabo laba Mumpe ekyokunywa
Wuuno Omwana wo Mumpe ekyokunywa
Bw‟atyo alaama: Ggwe Maama
Omwana wo wuuyo…….. Mbonaabona
Yezu nkwagala Mbonaabona
Ofudde n‟ondeka Mbonaabona
Yezu nkwagala Mbonaabona
Ntwala eyo gy‟olaga Mbonaabona
MBONAABONA MBONAABONA MBONAABONA.
By: Joseph Kyagambiddwa



Uri kuririmba: Indirimbo ya 199 mu Catholic luganda