Indirimbo ya 200 mu CATHOLIC LUGANDA
200. MU DDUBI SIKAYO OMWOYO
1. | GWANGE (Fr. James Kabuye) Ekidd.: Mu ddubi, sikayo omwoyo gwange, Ayi Mukama mpuliriza. x2 |
2. | 1. Nnyima mu kiwonvu ne nkuwanjagira ayi Mukama, Ayi Mukama, wulira eddoboozi lyange. |
3. | 2. Amatu go gawulirize leero, eddoboozi Ery‟okuwanjaga kwange. |
4. | 3. Oba kujjukira bibi bulijjo Ggwe ayi Mukama, Ayi Mukama singa ani aliwo ku nsi? |
5. | 4. Naye ewuwo y‟eri ekisonyiwo ky‟ebibi byaffe, Basobole bonna okukuweereza n‟ekitiibwa kyonna. |
6. | 5. Nsuubira mu Mukama omuyambi wange, omwoyo gwange Gusuubira mu Kigambo kyo. |
7. | 6. Omwoyo gwange gulindirira Omukama, okukira abakuumi, Bwe balindirira mmambya ajja. |
By: |