Indirimbo ya 203 mu CATHOLIC LUGANDA
203. NSAASIRA MUKAMA
1. | NNEENENYEZZA (Zab: 50) (Fr. Expedito Magembe) Ekidd.: Nsaasira Mukama nneenenyezza, Nneenenyezza Mukama onsaasire Nsaasira Mukama nneenenyezza, Nnasobya Mukama onsaasire. |
2. | 1. Ekisa ekikyo Mukama nga tekikoma N‟obusaasizi obubwo bwa mirembe, Mukama nsaasira. |
3. | 2. Ggwe Omusaasizi Mukama nsaasira Nnaazaako ebibi biggweewo Mukama ntukuza. |
4. | 3. Nze nzikiriza ddala Mukama nnayonoona Nze njatulira ddala nga ndi mubi Mukama nsaasira. |
5. | 4. Nze kye nkusaba Mukama onzize buto Nziriza omwoyo omutukuvu Mukama ntukuza. |
6. | 5. Nze kye nkusaba Mukama tongobanga Nteeka mu maaso go bulijjo Mukama ennaku zonna. |
7. | 6. Nze nneenenyezza Mukama nsaasira Nnasobya mu maaso go Mukama nsaasira. |
By: |