Indirimbo ya 204 mu CATHOLIC LUGANDA
204. N’ABONAABONA N’AYITIRIZA
1. | (Fr. James Kabuye) Ekidd.: N’abonaabona n’ayitiriza, n’abonaabona obutakoma N’akomererwa, n’afumitibwa, n’avumirirwa baganzi be. |
2. | 1. Yayabulirwa bw‟atyo n‟atayambibwa Batume nabo baatya, badduka bubi Baamusimbako amaanyi, baasiba eyali owaabwe Nga bagwa eyali entiisa y‟Omulokozi. |
3. | 2. Yatunuulira ensi n‟agisaasira, yaleka bali abaddu ne bamusiba, Baali balina empiiga, baagala batte atatta Kyokka teyatya Yezu n‟abawulira. |
4. | 3. Wulira eyali alamula bw‟ajegemera; Ng‟alabye eyali w‟ali talina kabi; “Twagala tuwe omussi Baraba mute asaanye Kabaka tuwe essakki ery‟okumuzisa .‟‟ |
5. | 5. Yabonaabona bw‟atyo olw‟okutwagala, Naffe nno tuwe Yezu tube baddu bo Tuli baddu bo naffe saasira tuwe amaggya, Kaakati tuwe enneema ey‟okukwagala. |
By: |