Indirimbo ya 206 mu CATHOLIC LUGANDA
206. OMUSAALABA, OMUTI
Ekidd: | |
: Omusaalaba, omuti ogwo omwesigwa Mu miti egyo gyonna ogutajjika kitiibwa, Omusaalaba, tiwali kibira mwakula ogugwenkana Mu bikoola n’ebimuli n’ensigo, Omuti omulungi, enninga ennungi, N’obuzito bw’owaniridde bulungi. | |
1. | 1. Ayi olulimi, tendereza olutalo olw‟ekitiibwa Olwagobwa ku kijjukizo ky‟Omusaalaba Kw‟oba otendera obuwanguzi obw‟ekitiibwa; Omununuzi w‟ensi nga bwe yatambirwa, n‟agoba. |
2. | 2. Omuzadde eyasooka, Omutonzi yanakuwala ng‟agudde. Olulya olumu nagwa mu lumbe; Awo Yezu n‟alamba omuti aggyewo omusango ogwo, Ogwava ku muti. |
3. | 3. Ffe okusobola okulokoka, byali biteekwa okugenda bityo, Amagezi ne gasangulawo amagezi g‟omulimba kalinkwe; Eddagala n‟aliggya omulabe we we yayima Okututtattana. |
4. | 4. Awonno obudde obutukuvu bwe bwatuuka, N‟asindikibwa ng‟ava mu ggulu ewa Patri omuzaale, Omukozi w‟enkulungo y‟ensi n‟ava mu lubuto Lw‟Omubiikira, ng‟amaze okwefuula omuntu. 5. Bwe yamala okumaliriza emyaka asatu Ebbanga mu bulamu buno, Omununuzi ng‟aggya mu ye yekka ne yeewaayo okubonaabona. Akaliga ne kawanikibwa ku muti gw‟Omusaalaba, katambirwe. 6. Ayi omuti omulangavvu weta amatabi, gonda wenna, Oggweemu obukakanyavu obwakukuliramu buddirire; Omubiri gwa Kabaka ow‟omu ggulu guleege ku muti nno, Ogubeerekako. 7. Ggwe wekka Ggwe wasaanira okuwanirira ekyonziira ky‟ensi, N‟okuteekateeka omwalo, ensi eyali etokomose mw‟egoba ng‟ekyombo; Omusaayi Omutukuvu ogwayiika nga guva mu mubiri Ogwo ogw‟Akaliga, gwe yakasiiga luli. 8. Trinita afune ekitiibwa ennaku zonna. Patri ne Mwana bakyenkanye n‟Omukubagiza ettendo Alifune kyenkanyi; Erinnya ly‟omu oyo Nnabasatwe, Byonna bitenderezebwenga. Amiina. |
By: Fr. James Kabuye |