Indirimbo ya 208 mu CATHOLIC LUGANDA
208. TEWEERABIRA MUKAMA
1. | (Fr. Expedito Magembe) Ekidd.: Ayi mwoyo gwange teweerabira Mukama by’akukolera Tenderezanga, ogulumizenga erinnya lye. |
2. | 1. Katonda mulungi era musaasizi – Yee mulungi musaasizi Katonda y‟atuyamba kuba musaasizi Katonda ye yateesa byonna ne bibaawo – Ayi mwoyo gwange……… Katonda Mulokozi era musaasizi – Katonda tumutende kuba musaasizi – Katonda ye yateesa kuba musaasizi – Ayi mwoyo gwange….. Katonda y‟ayamba kuba musaasizi – Katonda y‟atukuuma kuba musaasizi – Katonda wa buyinza era musaasizi – Ayi mwoyo gwange…….. Nja kuyimba omukwano gw’Omukama Nnangirire ebirungi by’ankolera N’ekisa kye ndikiyimba emirembe gyonna. |
3. | 2. Siryerabira Mukama wange by‟ompadde, wamma onjagala Ndikutenda Mukama wange obutamala – sirikwerabira Ndikutenda, ndikusinza Ggwe Omutonzi – oli Mutuukirivu. Siryerabira Mukama wange by‟ompadde – ndaba byewuunyo Leero olonze nze onzadde buto – sirikwerabira Bukya oyamba oyambye nze n‟okamala – sirikwerabira. Ekitiibwa n‟obuyinza bya Katonda – tumutendereze Katonda oyo ow‟ekitiibwa ali omu – tumutendereze Nkoowoola abamutya oyo Omutonzi – tumutendereze Ekitiibwa n‟ettendo tubiwe Oli – tumutendereze. |
By: |