Indirimbo ya 211 mu CATHOLIC LUGANDA
211. ABAKRISTU MUTENDEREZE
1. | AKALIGA KA PASKA (Fr. James Kabuye) Ekidd.: Alleluia, Alleluia, Kristu azuukidde. |
2. | 1. Abakristu mutendereze ekyonziira kya Paska, Akaliga akanunudde endiga, Kristu ataliiko musango. Atabaganyizza aboonoonyi ne Kitaawe. |
3. | 2. Olumbe n‟obulamu byalwana obwezizingirire, Omugabe w‟obulamu eyafa luli alamula, nga mulamu. |
4. | 3. Tubuulire Maria ky‟olabye mu kkubo: Nnalabye entaana ya Kristu omulamu Nnalabye n‟ekitiibwa ky‟Azuukidde, Ssaako Bamalayika abankakasizza, Ekiremba n‟ekyambalo, Kristu essuubi lyange, Azuukidde, alibeesooka e Galilaaya. |
5. | 4. Tumanyi nga Kristu yazuukirira ddala mu bafu, Ayi Katonda omuwanguzi tusaasire, Amiina, Alleluia. |
By: |