Indirimbo ya 220 mu CATHOLIC LUGANDA
220. FFE ABANGI
1. | 1. Ffe abangi abakunngaanye, Alleluia! Essanyu litubugaanye: kwe kuyimba! Tutendereza Yezu waffe, Alleluia Azuukidde, lye ssuubi lyaffe, titwerimba, Alleluia, Alleluia, Alleluia! |
2. | 2. Olumbe y‟aluwangudde, Alleluia! Era n‟eggulu aliggudde, nga twesiimye! Aswazizza omulabe waffe, Alleluia N‟atujuna mu nnaku zaffe, tumusinze, Alleluia, Alleluia, Alleluia! |
3. | 3. Leero sitaani akankane, Alleluia! Ka Yezu yekka awanngame! Ye Kabaka Oyo yekka ffe gwe tusinza, Alleluia! Kuba ye Mukama Omuyinza, ye Kabaka, Alleluia, Alleluia, Alleluia! |
4. | 4. Ayi Yezu Ggwe tukweyunye, Alleluia! Ensi ffenna tugidduse, tukulonze! Byonna by‟onootulagiranga, Alleluia! Ffenna tujja kubituusanga; ka tugonde! Alleluia, Alleluia, Alleluia! |
5. | 5. Ekkubo olitusambidde, Alleluia! Tusimbenga Ggwe mw‟oyise, ng‟otulinda. Tubeere, bwe tulikusanga, Alleluia! Mu ttendo lyo, ayi Omutanda, nga tuyimba: Alleluia, Alleluia, Alleluia! |
By: M.H. |