Indirimbo ya 221 mu CATHOLIC LUGANDA
221. KIKI EKIRITUGGYA KU KRISTU?
1. | (Fr. Expedito Magembe) Kristu yatwagala nnyo, Kristu yeewaayo, Kristu n‟atulokola Kristu yatwagala nnyo…….. Kristu n‟atufiirira, Ku lwaffe yeewaayo ……….. Kristu n‟atulokola, Kristu yatwagala nnyo …… Kristu tumwekola nnyo, Mukama yatuganza nnyo. Yazuukira n‟alinnya ewa Kitaffe gy‟atudde, anti y‟atuwolereza. Kristu y‟atuwolereza ……… Kristu ffe atuyamba nnyo, Kristu y‟atubeezaawo ……. Kristu atwagala nnyo, Anti y‟atuwolereza ……….. Kristu tumwekola nnyo. Mukama yatuganza nnyo. Eyatwagala bw‟ati, // yatuganza nnyo// …. Omukama atwagala Yatusaasira owaffe, // yatuganza nnyo// … Kristu atwagala Yatubiita owaffe, // yatuganza nnyo// ……. Kristu atwagala Kristu leero kiriba kiki? …….. Kristu ate ne tumuvaako, TUTTI:- Kiki ekyo leero ekiritwawukanya? Kiriva wa Yezu? ………….. Kiriva wa? TUTTI:- Kiki ekyo ekiritwawukanya? Aliba walumbe yadde akabenje? ….. N‟akatono tibirisobola ffe okutuggya ku kwagala kw‟Omukama. Buliba bwavu, yadde okuswala?…….. Buliba bugagga, yadde ebisanyusa ……….. Kube kufa nno, yadde ebitiisa? ……… Aliba Malayika, yadde aliba ani? ……. Kiriba kiki Yezu? ……. Kiriba kiki? TUTTI:- Kiki ekyo leero ekiritwawukanya? Kristu ate kiriba kiki? ……. Mukama leero tuliba tutya? TUTTI:- Kiki ekyo leero ekiritwawukanya? Eyatwagala bw‟ati, //yatuganza nnyo// …. Mukama atwagala Yatusaasira owaffe, //yatuganza nnyo// …. Mukama atwagala Yatubiita owaffe, …. //yatuganza nnyo// …. Mukama atwagala. |
By: |