Indirimbo ya 222 mu CATHOLIC LUGANDA
222. KRISTU AZUUKIDDE
1. | Kristu azuukidde nga bwe yagamba Kristu azuukidde x2 Kristu azuukidde mu ntaana taliimu, Kristu azuukidde. Kristu azuukidde genda ogambe bonna, Kristu azuukidde. Azuukidde — Azuukidde — Azuukidde. x2 Mutendereze mwenna Akaliga Kristu Paska yaffe atambiddwa Walumbe amutuggyeeko, amutuggyeeko atuddizza obulamu, tuli balamu Amenye amagombe oli tununuddwa ffenna atubbudde, (tuli balamu x2) Alleluia – alleluia – alleluia – alleluia. x2 Tusaana tutende nnyo Kristu Omuwanguzi, tusaakaanye wonna nti Kristu azuukidde. Amiina Akaliga alleluia Alleluia – alleluia – alleluia – alleluia. |
2. | 1. Ekitiibwa n‟ettendo biweebwe Akaliga – Kristu Akaliga x2 |
3. | 2. Obuyinza n‟amaanyi bitende Akaliga – Kristu Akaliga x2 |
4. | 3. Amawanga mwenna mutende Akaliga – Kristu Akaliga x2 |
5. | 4. Buli kitonde kyonna kisinze Akaliga – Kristu Akaliga x2 |
6. | A ……………….. a ………………….Akaliga x2 |
7. | Amiina Akaliga – Amiina Akaliga – Amiina Akaliga. x2 |
By: Fr. Expedito Magembe |