Indirimbo ya 223 mu CATHOLIC LUGANDA
223. KRISTU PASKA YAFFE
1. | ATAMBIDDWA (Fr. Expedito Magembe) 1. Kristu omuwanguzi ye wuuyo Akaliga, Bendera emuli mu gwa ddyo, ffenna atubbudde. ‟ Ekidd.: Kristu ………… Paska yaffe Kristu ………… Paska yaffe Kristu ………… Paska yaffe Kristu atambiddwa. |
2. | 2. Ddala Kristu atambiddwa, atambiddwa ku lwaffe, Ye wuuyo Akaliga akaggyawo ebibi by‟ensi – kamalawo olumbe. |
3. | 3. Ddala Kristu atambiddwa, atambiddwa, atambiddwa ku lwaffe, Mu kufa kwe ekibi twakivaamu, mu kuzuukira kwe ffenna twalamuka. |
4. | 4. Ddala Kristu atambiddwa, atambiddwa ku lwaffe, Ebitambiro eby‟edda yabidibya ye Musaserdooti, Altari era ke Kaliga. |
5. | 5. Kristu ke Kaliga, keeko akanunudde endiga, Atabaganyizza oyo Kitaawe naffe aboonoonyi. |
6. | 6. Kristu Omununuzi, olwaleero azuukidde. Ekitiibwa n‟obuyinza bibye, emirembe n‟emirembe. |
By: |