Indirimbo ya 224 mu CATHOLIC LUGANDA
224. MPULIRA EDDOBOOZI
1. | LY’OMUKAMA (Fr. James Kabuye) 1. Mpulira eddoboozi ly‟Omukama limpita, Mpulira eddoboozi ly‟Omukama lyogera x2 Nzuukidde nkyali nammwe abange muleke kutya nzuukidde x2 Ka mbawe emirembe mwenna. Ekidd.: Nkulamusa Katonda wange gwe mmanyi Nneewaayo Katonda wange tondeka x2 Ky’oyagala kikolebwe nga bw’osiima Ky’oyagala kikolebwe nga bw’olonze x2 Nngenze ne Katonda wange mweraba Nsenze wa Muganzi wange Yezu. x2 Alleluia leero alleluia Alleluia Yezu alleluia. x2 |
2. | 2. Mpulira eddoboozi ly‟Omukama limpita, Mpulira eddoboozi ly‟Omukama lyogera; Nzuukidde nkyali nammwe abange mmwe munkwateko nze mwenna x2 Munzikirize nzuukidde … Nkulamusa …. |
3. | 3. Mpulira eddoboozi ly‟Omukama limpita, Mpulira eddoboozi ly‟Omukama lyogera; Nzuukidde nkyali nammwe, abange mugume kati mpangudde x2 Okufa nakwo nkwabudde ….. Nkulamusa ….. |
4. | 4. Mpulira eddoboozi ly‟Omukama limpita, Mpulira eddoboozi ly‟Omukama lyogera x2 Nzuukidde nkyali nammwe, mmwe nno abajulizi abansenga x2 Mugibuulire ensi yonna. |
By: |