Indirimbo ya 226 mu CATHOLIC LUGANDA
226. OLWALEERO ALUTUWADDE
1. | (Fr. Vincent Bakkabulindi) 1. Luno olunaku Katonda alutuwadde Alleluia Olwaleero Katonda alutuwadde Ka tumwebaze |
2. | 2. Tuyimbe nga tujaganya Alleluia Luno olunaku Katonda alutuwadde Ka tumwebaze |
3. | 3. Katonda Kitaffe, akoze, akoze nnyo Alleluia Luno olunaku Katonda alutuwadde Ka tumwebaze |
4. | 4. Yezu Omukama avuddeyo emagombe Alleluia Luno olunaku Katonda alutuwadde Ka tumwebaze |
5. | 5. Yezu amaze kati okuwangula Alleluia Luno olunaku Katonda alutuwadde Ka tumwebaze |
6. | 6. Era naffe tuli baakuwangula Alleluia Luno olunaku Katonda alutuwadde Ka tumwebaze Omazeewo enzikiza ebadde ekwatiridde wonna omazeewo enzikiza Situli baddu ba sitaani Oggyeewo okubuzabuza okumalawo emirembe oggyeewo enzikiza Situli baddu ba sitaani Oggyeewo okulagajjala nga twesiga ebitajja, oggyeewo enzikiza Situli baddu ba sitaani Ggwe wamma, osinze, otulaze obwakatonda bwo, ggwe wamma osinze Situli baddu ba sitaani V/ Tuwonye olumbe lwa sitaani Kalinkwe oyo Kati eggulu litulamidde R/ Alleluia V/ Tulina okwenyumiriza ffe Katonda yeebale! Kati eggulu litulamidde R/ Alleluia V/ Tulina okwenyumiriza ffe Katonda yeebale! Kati eggulu litulamidde R/ Alleluia V/ Tuzuukire ne Yezu waffe Gwe tukkiriza Kati eggulu litulamidde. R/ Alleluia. |
By: |