Indirimbo ya 227 mu CATHOLIC LUGANDA
227. TULANGIRIRA AMAWULIRE
1. | (Fr. Expedito Magembe) Tulangirira Amawulire agaleeta eddembe, Tulangirira Amawulire ag‟obulokofu Tulangirira Amawulire Agasanyusa Agaleeta eddembe ag‟obulokofu, Amawulire ag‟okwesiima. |
2. | 1. Yezu yazuukira —- Yezu yazuukira Ago ge mazima —– Ago ge Mawulire Agasanyusa Ye nno bwe yafa —- Ffenna n‟atufiirira N‟atuwonya okufa —- Ago ge Mawulire agalokola Kubanga bwe yazuukira —- Olwo bwe yazuukira Olwo ne tuddawo —– Ago ge Mawulire Agasanyusa Tata kwewaayo —– Ffe nga atuwolereza Yatuwolereza —– Ago ge Mawulire agatugumya Ye muyinza wa byonna —- Ye muwanguzi Ye Mukama wa byonna —– Ago ge Mawulire Agasanyusa |
3. | 2. Gano gano — gano ge mazima ge nnangirira Ekigambo kino gwe musingi kwe nnyweredde. GANO GE MAZIMA A. Bw‟olimwesiga Omulokozi —- n‟omunywererako Olibeera n‟Omulokozi —– gy‟alibeera Talikuleka yalayira —– emirembe Ye muyambi atayabulira —– amunoonya Oluusi lw‟oterebuka —— n‟omuvaako Akuwondera Omulokozi —–n‟akunoonya Bw‟owuliriza Ekigambo kye —— n‟okikwata Olibeera mu kwesiima —— emirembe Bw‟olituusa bye wasuubiza —– n‟obinywererako Oligabana ebikusike ewa Kitaawe Bw‟obonaabona ne Kristu —— n‟omunywererako Olibeera ne Kristu emirembe Bw‟olyegaana Omulokozi —- n‟omuvaako Nga okutte lya kukuzisa emirembe Bw‟onywera n‟okuluusana —– n‟omunywererako Oligabana ebikusike ewa Kitaawe. B. Olibeera n‟Omulokozi ———olibeera n‟Omulokozi Bw‟olimwesiga Omulokozi —- n‟omunywererako Ye muyambi atayabulira —— ye muyambi atayabulira Talikuleka yalayira ——– emirembe Akuwondera Omulokozi—– Akuwondera Omulokozi Oluusi lw‟oterebuka ——– n‟omuvaako Olibeera mu kwesiima ——olibeera mu kwesiima Bw‟owuliriza Ekigambo kye —— n‟okikwata Oligabana ebikusike ——– oligabana ebikusike Bw‟olituusa bye wasuubiza —– n‟obinywererako Olibeera ne Kristu —— olibeera ne Kristu Bw‟obonaabona ne Kristu —— n‟omunywererako. |
By: |