Indirimbo ya 228 mu CATHOLIC LUGANDA
228. TULI MU SSANYU
1. | 1. Tuli mu ssanyu, lwaki mulina ennaku, Baana battu mmwe lwaki okulira mutyo! Tuli mu mbaga esinga okunyuma nnyini: Muyabya mmwe lumbe ki olw‟omufu wano! |
Ekidd: | |
: Ka tuyimbe ffenna n’okujaguza Paska anti y’eno, lwe lw’obulokofu. Tuyozaayoza Kristu olw’obuzira bwe; Tumukulise Yezu lw’agobye entalo, Atuggye naffe mu nnaku omugobi. Bonna: Nga musaasizi, Yezu Omuzira Kristu nga muwanguzi sso okuzuukira Mutabaazi! Alleluia! | |
2. | 2. Yamaze ssatu ennamba ez‟okufa ennaku, Sibalimba, mu ntaana n‟agolokoka; Kye mbanyumiza ab‟ensi abalina ennaku: Mulina kati eddembe n‟okulokoka. |
3. | 3. Twali banaku, n‟ajja Omwagazi atafa, N‟atufuukira omuntu ajje atulokole N‟atubeera nga awaayo ky‟alina ekifa Baana b‟Adamu twesiimye okukamala. |
By: Joseph Kyagambiddwa |