Indirimbo ya 232 mu CATHOLIC LUGANDA
232. YEZU EYAFA LULI
1. | 1. Yezu eyafa luli lw‟ameggwa olumbe! Wuuno yalugobye, leero azuukidde! Bwe yayimuse n‟alussa omuggo anti Omusaalaba. Ekidd.: Luno alleluia eyimbwe nnyo! Lunaku lwa kitiibwa lwawufu Mazima ddala Yezu azuukidde! Kristu awangudde! |
2. | 2. Ye nno amaze mbale, entaana y‟eroopye! Yiiri yagimenye, amyansa yenna! Okuzuukira kwaziise olumbe! Naffe tuluwoye. |
3. | 3. Ggwe nno amudaagira, lwaki nno okaaba? Oh, kitalo ddala era kyewuunyo! Abamulabye boogedde nti nno: Yezu yalamuse! |
4. | 4. Naaza amaziga go n‟ogenda gy‟ali Yezu ddala owuwo alinze otuuke; Alagiriza n‟agamba: “Nzuuno, Nzuuno gwe mwagala!” |
5. | 5. Yezu okuzuukira, twesiimye ffe nno, Nnyiniggulu eyafa ku lwaffe ffenna Olabikako gy‟obadde wa eyo, Ayi eyatwagala! 6. Kristu tube wamu gy‟ogenda okudda, Naffe totuleka tutwale ffenna, Nga otuzuukiza n‟otuzza obuggya Ayi eyatwagala. |
By: Joseph Kyagambiddwa |