Indirimbo ya 235 mu CATHOLIC LUGANDA
235. ALIBAWEERA EMPEERA
1. | (Fr. Expedito Magembe) Ekidd.: Alibawera empeera ey’olubeerera, Alibatuuza Omukama mu kitiibwa kye. |
2. | 1. Bwe mulikola ne mukuuma ebyo bye mugambye, Okuyambagananga buli kakedde, |
3. | 2. Bwe mulikola byonna Yezu by‟agamba, Okusonyiwagananga buli wantu. |
4. | 3. Mu ssanyu ne mu nnaku ne mutuusa ebyo bye mugambye, Obutayawukana walumbe yekka. |
5. | 4. Bwe mulyesiga ne mwagala oyo eyabatonda, Essanyu lyammwe lya lubeerera. |
6. | 5. Munywere mugume bye mwetemye munaabituusa, N‟Omukama ng‟abayambako. |
7. | 6. Abakuumenga Omukama omuyinza, Buli kyonna ekyammwe kirunngame. |
By: |