Indirimbo ya 236 mu CATHOLIC LUGANDA
236. BYONNA BIWEDDE
Ekidd: | |
: Byonna biwedde, byonna biwedde, x2 Leero tusazeewo, tuli bantu ba Mukama emirembe gyonna. Ffenna tusazeewo, tunawuliranga Katonda yekka. Kubanga ye Katonda waffe, ffe ate tuli bantu be, Endagaano yaffe eno ya mirembe na mirembe. Amiina, Amiina, Amiina, Amiina. Amiina; …………..Amiina. | |
1. | 1. Omwoyo gw‟abantu be Mukama gumulumye wulira agamba, “Nze nzennyini, nze nzennyini nsituse, Nkunngaanye abantu bange Ebuvanjuba n‟Ebugwanjuba. Mbayingize mu Yeruzalemu omuggya, Munaabanga bantu bange mmwe, nnaabanga Katonda wammwe. x2 Nze mbatwala, nze mbaliisa, emirembe x2 |
2. | 2. Omwoyo gw‟abantu be Mukama gumulumye wulira agamba, “Nze nzennyini, nze nzennyini nsituse, Ka ntaase abantu bange mu buyinike n‟okufugibwa. Mbayingize mu Yeruzalemu omuggya. Munaabanga bantu bange mmwe, nnaabanga Katonda wammwe x2 Nze mbatwala siribaleka, emirembe x2 |
3. | 3. Nga watwagala nnyo Ggwe, eyatutonda Mukama, Nga watwagala nnyo Ggwe, eyatusonyiwa nga tuwabye, Oli wa kisa nnyo eyatugatta mu Kristu Omwana wo. Tuli baana twegiriisa, tuli basika b‟Endagaano mu Kristu Omwana wo x2 Ka tusanyuke ffenna twebaze, Ggwe Kitaffe Katonda, Eyatwagala bw‟otyo n‟okamala ffe abantu. |
4. | 4. Nga watwagala nnyo Ggwe, eyatutonda Mukama, Nga watwagala nnyo Ggwe, eyatusonyiwa nga tuwabye, Ffe tukwebaza nnyo, eyatuganza mu Kristu Omwana wo. Tuli baana twegiriisa tuli basika b‟Endagaano mu Kristu Omwana wo x2 Mu buli kimu ffenna twesiga Ggwe Kitaffe Katonda. Eyatwagala bw‟atyo ataamumanye, ava wa? |
By: Fr. James Kabuye |