Indirimbo ya 237 mu CATHOLIC LUGANDA
237. EGGULU YE MPEERA
Ekidd: | |
: Eggulu ye mpeera, Kigambo kya kitiibwa nnyo Tiwali ssanyu wonna lisinga lino awalala! Nyiikira mu kwegaana amasanyu g’ensi eno; Weerezanga Omukama! Eggulu ye mpeera! | |
1. | 1. Nga bwa kitiibwa nnyo, Obwakabaka bwa Yezu Beesiimye abantu ababutuulamu bonna Nyiikira fuba naawe, gye watonderwa y‟eyo. x2 |
2. | 2. Nga bwa kitiibwa nnyo, Obwakabaka bwa Yezu Beesiimye abantu Katonda b‟ayise bonna Nyiikira fuba naawe; gye watonderwa y‟eyo. x2 |
3. | 3. Nga kya kitiibwa nnyo, okwagala Omutonzi oyo Beesiimye abantu abamuweereza mu nsi! Nyiikira fuba naawe; gye watonderwa y‟eyo. x2 |
4. | 4. Ssanyu okuba ffenna, mu Yeruzalemu omuggya! Beesiimye abantu abaligendayo eyo! Nyiikira fuba naawe; gye watonderwa y‟eyo. x2 |
By: Fr. James Kabuye |