Indirimbo ya 238 mu CATHOLIC LUGANDA
238. KATONDA ALIBAWEERA
1. | (Fr. Expedito Magembe) Ekidd.: Katonda alibaweera abakola obulungi. Ka tunywere tufube. Laba, Yeruzalemu ekibuga ekikulu, lye ggulu y’empeera, y’eka ewaffe. |
2. | 1. Obeeranga mwenkanya ng‟olamula omugwira, n‟omunaku tomugoba. Bw‟oyamba abanaku ng‟oyambye Ye. Alikuweera. |
3. | 2. Ogunjulanga abaana mu ddiini bwe butume obusooka. Obutume bwa Kristu abutuusa Ye alimuweera. |
4. | 3. Ekisulo k‟ensi eno kya luwunguko ku nsi kuno tuyita lumu. Emirembe emituufu gye giri eri ew‟Omukama. |
By: |