Indirimbo ya 239 mu CATHOLIC LUGANDA

239. KATONDA WA BUYINZA


Ekidd:
: Asaana kwebaza, asaana kwebaza yeebale
Asaana na kutenda wonna mu Uganda.
1.1. Katonda wa buyinza, 5. Sitaani twamukyawa
Yasindika Mapeera Ayita eyo buziizi
Ajje eno mu Uganda Alimberimbe bw‟atyo
Asomese eddini. Tuve ku Katonda.
2.2. Twali mu kulagulwa, 6. Eddiini tuginyweze
Kuwongera Lubaale Eya baganda baffe abo
Kati ebyo twabisuula Abaayiwa omusaayi
Tusinze Katonda. Okubeera Yezu.
3.3. Yaleeta Ekitangaala, 7. Tubuuke twegiriise
Ne kyakira Uganda Mu maaso ga Kitaffe
Ne tumanya Katonda Akuumye eddiini yaffe
N‟ebiragiro bye. Emyaka ekikumi.
4.4. Basaserdooti bangi 8. Tusuubira bulijjo
Wamu ne bannaddiini Empeera ey‟eggulu
Abeewaayo bulamba Gye tulyesiimira eyo
Basomese eddiini. Emirembe gyonna.
By: Fr. Gerald Mukwaya



Uri kuririmba: Indirimbo ya 239 mu Catholic luganda